Ebyobulamu
Dokita bamuyise bukubirire
Kooti ento eya Buganda road eyise omusawo wabakyala Dr Edward Tamale Ssali alabikeko gy’eri
Dr Ssali avunaanibwa kulagajjalira mulwadde ekyamuviirako okufa
Ono abadde alina okulabikako mu kooti olunaku lwaleero lyokka nga talabiseeko
Dr Ssali nga y’akulira eddwaliro ly’abakyala e Bukoto avunaanibwa n’abasawo Christopher Kirunda kko ne Dr Rafic Parker ng’ono yye abeera Kenya.
Bano kigambibwa okubanga beebavaako okufa bwa Mercy Ayiru mu mwaka gwe 2010.
Omulamuzi Olive Kazarwe kati alagidde Dr Ssali okulabikako mu maaso ge.