Ebyobulamu
Dr Ssali talina musango- Kkooti
Omusawo omukugu mu by’okuzalisa Dr. Tamale Ssali alya butaala.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Olive Kazarwe amwejerezza emisango gy’okulagajalira omulwadde naafa bwategezezza nga obujulizi obwaletebwa bwebubadde tebumatiza.
Kazarwe ategezezza nga Doctor Ssali bwatali mukugu mu ndwadde z’ebizimba mu bakayala naye nga omulimu gwe okwolondoola buli kimu ekyali kikolebwa ku mukyala eyafa yakikola nga bwekyali kyetagisa.
Omulamuzi era yejjerezza ne Dokita Christopher Kirunda abadde avunanibwa ne Dokita Ssali bwatagezezza nga naye bweyafuba okulaba nti ebyuuma ebyali bikozesebwa okulongoosa omukyala byali mu mbeera nungi.
Ababiri bano babadde bavunanibwa musango gwakulagajalira mirimu gyaabwe ekyavirako omukyala Mercy Ayiru okufiira mu ddwaliro lyabwe wali e Bukoto mu October wa 2010.