Ebyobulamu
Duyiro atangira Ssenyiga
Okukola dduyiro okumala essaawa bbiri n’ekitundu buli wiiki kikendeeza emikisa gy’omuntu okufuna senyiga
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku bantu enkumu nnya mu lunaana mu ggwanga lya Bungereza
Okukola dduyiro okumala akaseera akatono tekirina kyekigasa
Wabula ate era senyiga ono agyira nnyo u biseera by’omusana
Okunonyereza okuzudde bino kukyagenda mu maaso nga kati kwakamala emyaka etaano.