Ebyobulamu
E Bukomansimbi 10 bakwatiddwa lwa tooyi
Abatwala ebyobulamu mu disitulikiti ye Bukomansimbi bakutte abantu 10 lwabutaba na kabuyonjo
Bano bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ku byaalo bisatu mu disitulikiti ye Butenga
Ebyaalo ebituukiddwaako kwekuli ekye Kabigi, Meru ne Mbaale.
Atwala eby’obulamu mu gombolola ye Butenga Cyprus Kipaku agamba nti abantu bangi ku byaalo bino babadde tebalina kabuyonjo nga bakyaama mu nsiko ekivuddeko n’abamu okulwaala
Kipaku agambye nti ate ekikwekweto kikyagenderera ddala mu maaso nga bakukwata n’abatalina webayiwa kasasiro
Ono era alabudde n’abo abatunda eby’okulya nti bajja era abatalina bisanyizo bonna bakukwatibwa