Ebyobulamu
E Bulaaya, omugejjo gutuuse mu bawala abato
Okunonyereza okukoleddwa mu mawanga ga bulaaya kulaga nti abakyala bangi abali mu myaka egizaala banene nnyo nga kiyinza okubabeerera ekizibu okuzaala
Mu banonyereza kubaddeko ne bannasayansi okuva mu kibuga Edinburg abategeezezza ng’era abaana abazaalibwa abakyala abanene bwebatera okulwaalalwaala
Bano bagamba nti buli mukyala yandibadde alwanyisa omugejjo kubanga gubakosa n’abaana beebazaalibwa