Ebyobulamu
E Butabika, abasawo batono
Ebbula ly’abasawo mu dwaliro lye Butabika lizingamiza emirimu.
Akola ng’akulira edwaliro lino Dr.Juliet Nakku agambye nti omuwendo gw’abalwadde ogweyongera buli lukya, ate ng’abasawo batono gutadde edwaliro mu katyabaga.
Dr. Nakku agamba nti wadde nga government yabasubiza okubawa abasawo abalala, wabula kino tekinakolebwa.