Ebyobulamu

E Mbale eddwaliro likaabya

Ali Mivule

April 20th, 2015

No comments

Mbarara hospital

Embeera eri mu waadi etuukirwaamu abayi mu ddwaliro lye Mbale yenyamiza ng’abalwadde bagabana ebitanda ate abalala beebaka wansi

Tukyaddeko mu ddwaliro lino ng’ekitanda kimu kiriko abaana bana bonna nga bali mu ccupa.

Jessica Ochom, omu ku bakola mu ddwaliro lino atutegeezezza nti nabo tebalina kyakukola kubanga tebalina bitanda nga kati bagatta abalwadde naddala abaana yadde bakimanyi nti kyabulabe

Akulira eddwaliro lino Simon Kisabagire akkiriza nti balina obuzibu kyokka n’ategeeza nga bwebaliko ebitanda byebaafunye okuva eri omubaka wa palamenti Jack Wammanga era nga bakubigaba mu zi waadi

Yye omubaka Wammanga agamba nti ebitanda bino birina kugulwa gavumenti kyokka nga teyenyeenya nga kati kyebavudde basalawo okuyambako