Ebyobulamu
E Mulago teri byuuma bya muliro
Eddwaliro lye Mulago litubidde n’abalwadde b’emiriro olw’ebbula ly’ebyuuma ebijanjaba abayidde
Abalwadde okuva mu ward 3B bagamba nti bamaze enaku 2 nga tebefuna bujjanjabi, olw’ebbula ly’ebyuuma ebirina okukozesebwa mu kubajanjba.
Wabula atwala ekiwayi ekikola ku muliro Dr Robert Ssentongo, bino byonna abisambazze.
Ekigambibwa okuba ng’eddwaliro lye Mulago lyetaaga ensimbi obukadde 100, buli mwezi okujanjaba abalwadde b’omuliro.