Ebyobulamu
E Mulago teri sikaani
Abalwadde abeetaga sikaani e Mulago batandise okusaba nti basiibulwe oluvanyuma lw’okulemererwa ebisale bya sikaani z’ebweru
Mu kadde kano e Mulago teri kyuuma kya sikaano kyokka nga mu malwaliro ebweru, omuntu yeetaga ensimbi eziri wakati w’emitwalo 20 ne 50 okukeberebwa kale bangi nga tebasobola kufuna nsimbi zino
Mu ddwaliro e Mulago, ekyuuma kyekimu kya mitwalo 12
Abamu ku betwogeddeko nabo bagamba nti tebalina kyakukola okuleka okudda ewaka kubanga essuubi erifuna ssente libaweddeko.
Ekyuma kino kibadde tekikola okuva ku ntandikwa y’omwaka guno era nga yadde wabaddewo okusuubiza okukola ku nsonga eno tewali kikoleddwa
Wabula omwogezi we Mulago Enock Kusaasira agaanye okubaako ne ky’anyega ku nsonga eno.