Ebyobulamu

Ebbago ku Mukenenya-obuwaayiro obumu busuuliddwa

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

AIDS among youths

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga za mukenenya bakkiriziganyizza okusazaaamu akawayiiro mu bbago ly’etteeka ku mukenenya akakifuula eky’obuwaze abasawo okwatuula abantu abalina obulwadde bwa mukenenya

Akawayiiro namba 23 mu bbago lino kabadde kawa dokita olukusa okwatuula omuntu gwebakebedde n’aasangibwa n’akawuka ka mukenenya kasita azuula nti omuntu oyo ayinza okutambuza obulwadde.

Akawayiiro akalala aka 21 kko kabadde kagamba nti omusawo akkirizibwa okwatula alina mukenenya ssinga omuntu oyo abeera ne muganzi we nga talina ate nga tamugambye

Ababaka okubadde Dr. Kenneth Omona, Dr. Medard Bitekyerezo ne Dr. Chris Baryomunsi bakiwakanyizza nga bagamba nti kijja kukugira abantu okwekebeza obulwadde bwa mukenenya.

Ebbago lino liwakanyiziddwa nnyo abalwanyisa obulwadde bwa mukenenya nga bagamba nti lyakutumbula okuboola abantu abalina obulwadde buno