Ebyobulamu
Ebbugumu likendeeza emikisa gy’okuzibikira emisuwa egili mu binywa
Abakugu bakizudde nti omuntu bw’abeera mu kifo ekilimu ebbugumu kikendeeza emikisa gye egy’okuzibikira emisuwa egili mu binywa.
Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bakyala emitwaalo 20 mu ggwanga lya America.
Abakugu bakizudde nti kino kiyinza okuba nga kiva ku kirungo kya vitamin D ekisangibwa mu musana.
Wabula ate abakugu bano beebamu balabudde nti kino tekisaanye kukozesebwa bantu kusiima mu musana kubanga nagwo ssi mulungi nakatono.