Ebyobulamu
Ebbula ly’edagala lya ARV lirumbye Lyantonde.
Bya Getrude Mutyaba
Tutegeezedwa nga e bbula ly’eddagala eriweweeza ku kawuka akaleeta mukenenya bwerituuse e Lyantonde, era nga mukaseera kano lifuuse lyakugabana.
Akulira eby’obulamu e Lyantonde Dr Okoth Obbo agambye nti singa gavument teevaayo newagira ensawo ya AIDS Trust Fund, abantu bangi bolekedde okufa.
Dr Obbo agamba nti omuwendo gw’abalwadde abajja okufuna eddagala ku ddwaliro mungi nnyo kyokka nga kati kumpi mwezi mulamba nga tebalina ddagala.
Abamu ku balwadde abalina akawuka akaleeta mukenenya abaasangiddwa ku ddwaliro bategeezezza nga bwebolekedde okufa olw’omuwendo gw’abalwadde ogweyongedde nga ebiseera bino bafikka eddagala