Ebyobulamu
Ebbula ly’obupiira, akaveera keekakola kati
Ebbula ly’obupiira bu galimpitawa litabuse mu bizinga nga kati abavubi bakozesa buveera
Ebizuuliddwa akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’abavubi biraga nti abavubi bano bakwata obuveera buno nebabwenaanika nga basibyeeko obuguwa oba labbabbandi olwo nebakola ebyaabwe
Akulira akakiiko kano Dr.Lulume Bayiga agambye nti kino kisinze kubeera ku mwaalo e Katosi, e Senyi ne Kiyindi.
Dr Lulume agamba nti abavubi bano kyebakola kikyaamu kubanga tekirina ngeri gyekibatasaamu bulwadde bwa mukenenya
Ebizuuliddwa nnyo tebyewunyisa eri omuntu abadde agoberera ebya mukenenya mu bavubi nga buli 100 b’osanga 37 ku bbo baba balina ekirwadde kya mukenenya.
KKyo ekibiina ekya Strengthening Knowledge management and Commination Capacity kigamba nti obuzibu bwonna buvudde ku kitono ekikoleddwa gavumenti okulwanyisa siriimu mu bavubi
Omwogezi w’ekibiina kino Helen Buxton agambye nti abavubi bitono byebamanyi ku siriimu kale nga bamutambuza mu butamanya
Buxtonera agamba nti abavubi bafuna ssente nyingi ate nga zabuli lunaku kale nga tekibaluma nebwekuba kugula ba malaaya
Ono ayagala gavumenti eveeyo n’enteekateeka ennambulukufu ku ngeri y’okulwanyisamu essimu eno mu bavubi.