Ebyobulamu

Ebigendererwa ebiggya bijja

Ali Mivule

April 22nd, 2015

No comments

health center rural

Abakulembeze b’amawanga okwetoloola ensi yonna bakusisinkana mu mwezi gw’omwenda omwaka guno okutongoza ebigenderera ebijja okudda mu kifo ky’eby’ekyaasa.

Ebigenderera ebiggya byakutuumibwa Sustainable Development Goals era nga byakuba 17.

Kati abalwanirira ebyobulamu bagaala ensonga z’ebyobulamu naddala ez’ebyokuzaala by’abakyala n’abaana bissibweeko omulaka.

Akulira ekibiina kya White Ribon Alliance Betty Biteyi agamba nti abakyala bangi bafiira mu sanya mu mbeera eyinza okuziyizibwa era nga kirina okukoma.

Biteyi agamba nti bagaala ensimbi ezissibwa mu byobulamu birina okwongezebwaako okutaasa obulamu bw’abakyala n’abaana