Ebyobulamu
Ebiri mu nkambi ssi byaffe
Minisitule y’ebyobulamu yetegudde eky’obutakola kimala kutaasa bantu bali mu nkambi y’ababundabunda e Kyangwali endwadde okuli ekiddukano n’omusujja gw’ensiri.
Enkambi eno erimu abantu abasoba mu 2561 wabula nga bonna bakozesa kabuyonjo emu.
Kati omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr.Asuman Lukwago agamba minisitule y’ebigwa tebiraze yerina okutegekera abantu bano okulaba nga enkambi eno tefuuka kattiro.
Agamba minisitule y’ebigwa tebiraze esaanye okutegekera abantu bano okuwangalirira mu mbeera y’ebyobulamu eyeyagaza.