Ebyobulamu
Ebivavava birungi ku baana
Abaana abato basobola okwagala okulya ebivavava ssinga bitandika kubaweebwa nga tebannaweza myaka 2 nebasobola okubimanyiira
Abaana bangi bagaana okulya ebivavava yadde nga birungi nnyo eri obulamu bwaawe
Ebivava nno bino bitangira endwadde nyingi mu baana nebabeera nga balamu bulungi
Abazadde bakubirizibwa okuwa abaana baabwe ebivavava okuva ku myezi mukaaga okudda waggulu nga kino kirina okukolebwa wakati w’emirundi 5 ne ekkumi mu wiiki.