Ebyobulamu
Ebizigo ebiziyiza mukenenya
Abanoonyereza bazudde nti ebizigo ebisiigibwa mu mbugo z’abakyala bisobola okuyamba okuziyiza ekirwadde kya Mukenenya.
Ekizigo kino ssinga omukyala ekyesiiga mu ssaawa ssatu nga yakegatta n’omusajja bannasayansi bakakasizza nti tafuna bulwadde.
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku nkima.
Wabula bbo abasawo abakugu bagamba nti bakugenda mu maaso nga beetegereza ebyazuuliddwa naye nga mu kadde kano befunyiriridde kutumbula nkozesa ya kapiira