Ebyobulamu
Ebola- abeesogga Uganda bakeberebwa
Ng’ekirwadde kya Ebola kikyayongera okutta abantu ku ssemazinga wa Africa, ministry y’ebigwa tebiraze eyongedde okuteeka obukyakulizo ku banoonyi bobubudamu okuva mu ggwanga lya CONGO abagala okuyingira eggwanga.
Kino kiddiridde ekirwadde kino okulumba eggwanga lya Congo era banji bali ku ndiri.
Minisitry omubeezi ow’ebigwa tebiraze Musa Echweru, agambye nti kati teri munoonyi wa bubudamu yenna yesogga Uganda awatali kusooka kukebereba nnyo.
Ono agamba nti essira basinze kuliteeka mu district ye Bundibugyo ewali ensalo esinga okuyingiza abantu abangi.