Ebyobulamu
Ebola atabukidde abe Liberia
Eggwanga lya Liberia lirangiridde nti omuwendo gw’abalina ekirwadde kya Ebola gubayitiriddeko obungi nga tebakyabasobola.
Bano bagamba nti yadde bakola kyonna ekisoboka okutaasa abalwadde, omuwendo gwongera kukula
Bbo ab’ekibiina ky’obwannakyeewa ekya MSF bagamba nti gavumenti yasooka n’enagayaalirira obulwadde buno nga yagenda okuzuukuka nga tewakyaali kizzibwa
Abantu abasoba mu 1000 beebakafa Ebola mu bugwanjuba bwa Africa ate abali mu 1800 bbo balina obulwadde buno.
Obulwadde buno amakanda bugasimbye mu Liberia, Sierra Leone ne Guinea kyokka nga buzze bubuna okutuuka mu mawanga amalala.