Ebyobulamu
Ebola atabuse- omusawo afudde mu Nigeria
Obulwadde bwa Ebola bwongedde okutabuka.
Mu ggwanga lya Nigeria, Omu ku basawo abaakola ku musajja enzaalwa ya Liberia alina obulwadde buno afudde
Omusajja gweyakolako yafiira mu kibuga Lagos ssabbiiti bbiri e Mabega
Minisita wa Nigeria akola k byobulamu akakasizza okufa kw’omusawo ono.
Omusawo ono afudde yakatuuka okuva mu Liberia gyeyava n’obubonero bw’obulwadde bwa Ebola.
Kati abantu babiri beebakafa obulwadde bwa Ebola mu Nigeria.
Bbo abakugu mu byobulamu batudde mu kafubo okulaba engeri y’okutaasa obulamu bw’abantu abakondoka
Olukiiko luno olugenda okumala ennaku ebbiri mu kibuga Geneva ekya Switzerland , abakugu bwebasuubirwa okusinziira okulangirira embeera y’akatyabaga mu ggwanga
Obulwadde buno bwatandika mu mwezi gw’okubiri era nga bwakatta abantu abasoba mu 400.