Ebyobulamu
Ebola awedde mu Liberia
Eggwanga lya Liberia lirangiriddwa ng’eriweddemu ekirwadde kya Ebola.
Ab’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu kyekirangiridde bino oluvanyuma lw’ennaku 42 nga tewali afunye bulwadde buno.
Liberia yegasse ku Guinea ne Sierra Leone abasooka okulangirirwa nti tebakyalina Ebola
Wabula ekibiina kino amawanga gano gakusigala nga gatoba n’ebirekeddwa ekirwadde kino ekyatta abantu abasoba mu mutwalo omulamba.