Ebyobulamu
Ebola ekyasattiza amawanga
Ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna kisisinkana akadde konna okukubaganya ebirowoozo ku bulwadde bwa Ebola obusenkanyezza enkumi mu mawanga agatali gamu
Olukiiko luno olutudde mu Geneva lwakutunuulira engeri y’okunywezzamu ensalo n’engeri gyekiyinza okuyambamu
Bino bizze nga mu America, abo bonna abava mu mawanga agalimu Ebola balina okukeberebwa ku bisaawe obutatambuza bulwadde
Yo mu ggwanga lya Sierraleone tekyaali kumala gatayaaya oluvanyuma lw’abantu babiri okubibwa ebyasi ebyabasse nga beekalakaasa okuvumirira engeri obulwadde bwa Ebola gyebukwatiddwaamu
Obulwadde buno bwakatta abantu abasoba mu 4500