Ebyobulamu

Ebola etabuse- Abazungu badduse

Ali Mivule

June 3rd, 2014

No comments

ebola guubbea

Mu ggwanga lya Sierra Leone obulwadde bwa Ebola bwongedde okubasenkenya nga bbo abangereza balabye tebaabisobole nebajjayo abantu baabwe

Abakozi abalala abakyaliyo balagiddwa obutamala gatayaaya era nga bakugiddwa.

Bbo ab’ekibiina kyensi yonna ekikola ku byobulamu bagamba nti bakola kyonna ekisoboka okutangira ekirwadde kino okubuna

Obulwadde buno obutaliiko ddagala bwesibye nnyi mu mawanga ga Africa agali mu bugwanjuba

Mu Sierra Leone yokka, abantu abali mu 50 beebalina ekirwadde kino ate nga bataano beebakafa

Mu ggwanga lya Guinea eriraanye Sierra Leone, abantu abasoba mu 100 beebakafa bukyanga bulwadde buno bubalukawo mu ggwanga lino.