Ebyobulamu
Ebola- eyakwatiddwa akyakeberebwe
Abakugu bakyagenda mu maaso n’owkekebejja omusaayi gw’omukyala eyakwatiddwa ku kisaawe Entebbe ng’ateberezebwa okubeera n’ekirwadde kya Ebola
Omukyala ono yabadde ava mu ggwanga lya Nigeria
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Asuman Lukwago agamba nti yadde omukyala ono alina senyiga n’omusujja, embeera ye teyeralikiriza
Ono agamba nti bakusigala nga bamwetegereza okutuusa nga bakkakasizza oba mulamu oba alina obulwadde era nga kino kyakubaawo mu lunaku luno
Obulwadde buno bwakatta abantu abasoba mu 1000 mu bugwanjuba bwa Africa nga ne mu Nigeria bwakattayo 2