Ebyobulamu
Ebola mu Guinea tatiisa
Ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu mu nsi yonna kigamba nti obulwadde bwa Ebola obukijjanya abe Guinea buli mu bifo bitono
Omwogezi w’ekibiia kino Gregory Hart agamba nti obulwadde buno tebunnatuuka kweralikiriza
Wabula ate bbo abali mu ggwanga lya Guinea bagamba nti obulwadde buno bubawadde obuzibu okulwanyisa kubanga budukira ku misinde gya yiriyiri Abantu 83 beebakafa obulwadde buno obwakakasiddwa edda mu ggwanga lya Liberia