Ebyobulamu

Ebya Global Fund bizzeemu

Ali Mivule

March 30th, 2015

No comments

TB family

Ensonga za Global Fund zizzeemu nga kati kitegerekese nti yadde Uganda yaweebwa ssente okugula emmere y’abalwadde b’akafuba, tebafunako yadde egiiko y’emmere eno.

Emmere eyabalirirwa emitwalo gya ddoola 30 yaweebwa wansi w’enkola y’okuyamba abalina akafuba n’ebigenge.

Abalwadde abawerera ddala 200 baali balina okuweebwa emmere n’ebisale by’entambula ebatuusa awali eddagala erijjanjaba obulwadde buno kyokka ng’ensimbi zino tezakwatibwaako.

Akulira akakiiko akalondoola ssente zisindikibwa wansi w’ensawo ya Global fund, Herny Magala agamba nti enkola eyitibwaamu okugula emmere eno teyakkirizibwa kale nga y’ensonga lwaki teyagulwa.

Yye minisita w’ebyobulamu Elioda Tumwesigye asabye okwongerwa obudde okusobola okwetegereza ensonga eno kubanga abadde takimanyi.