Ebyobulamu

Eby’okucanga abaana e Mulago bilinnye enkandaggo

Ali Mivule

January 6th, 2015

No comments

hospital in

Waliwo ekibinja ky’abasawo nga kwogasse abalwanirira eddembe ly’obuntu abalumbye eddwaliro ekkulu e Mulago nga baagala okunyonyolwa lwaki okucaangacanga abaana mu ddwaliro lino kususse nga abazadde baweebwa n’abaana abatali baabwe.

Kino kiddiridde omwami  Fred Sunday ne mukyaalawe  Province Atwongire okulumiriza nga bwebaweebwamu omulambo gw’omwana omulala mu kifo ky’omwana waabwe gwebazaalira mu ddwaliro lino.

Ekibinja kino kikulembeddwamu ekibina ekilwanirira eddembe ly’obuntu ku by’obujanjabi ekya  Center for Health Human Rights and Development’s Nakibuuka Musisi , nga baagala banyonyolwe kino kituukawo kitya.

Yye omwogezi w’eddwaliro lino Enock Kusasira ategezezza nga bwebagenda okutegeka olukungaana lwabannamawulire ku ssaawa 8 okwenyonyolako.

Bbo abafumbo bano ababiri batwaliddwa mu ggwanika gyebagenda okukeberebwa mungeri ya ndaga butonde eya DNA okukukakasa oba ddala omwana gwebaabawa nga afudde yali waabwe.