Ebyobulamu

Edagala lya ARVs liwedeyo e Mpigi.

Ivan Ssenabulya

January 22nd, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo

 

Kikakasiddwa nga eddagala eriweeweeza ku kawuka akaleeta mukenenya bwerikeeye mu district ey’e Mpigi nga kati abalwadde bamala ssabbiiti emu oba bbiri nga tebafunye ddagala lino okuva mu malwaliro ga gavumenti.

Dorothy Nassolo nga ono ayogerera ekitongole ekitakabanira okuyambako abantu b’akawuka ka mukenenya ekya  NAFOPHAN, agamba nti district emaze kati abbanga lya myezi ena nga eddagala likeeye naddala mu malwaliro okuli Mpigi Health Center IV, Butoolo Health Center III ne Kampiringisa agasinze okukosebwa ku nsonga eno.

District y’e Mpigi erimu abalwadde abawerera ddala 8,000 abateekebwa ku ddagala, kyokka kati abafuna eddagala bali 3,000 zokka.

Ndagire Betty, omukwanaganya w’abalwadde ba siriimu ku ddwaliro erya Mpigi Health Center IV agamba nti kati abalwadde abakulu abamu batandise kuweebwa ku ddagala ate eryandibadde ery’abaana abato kuba ddyo weeriri mu bungi.

Ye akulira ekitongole kya National Medical Stores, Moses Kamabare ategeezezza nti ekizibu kiva ku nteekateeka mbi ekolebwa district mu bitongole ebyobulamu naddala mu mbalirira y’eddagala, omuwendo gw’abalwadde n’engeri gyerisaasanyizibwamu.