Ebyobulamu

Eddagala erigema mukenenya

Ali Mivule

October 14th, 2013

No comments

HIV vaccine

Kawefube w’okugezesa eddagala erigema obulwadde bwa Mukenenya egenda bukwakku.

Abagezesa batambuddeko ebitundu 50 ku kikumi yadde nga tebaatudde ddi lwebamaliriza omulimu.

Okugezesa kuno kugenda mu maaso mu Kenya, Tanzania ne America

Omuwi w’amagezi eri gavumenti ku by’okugema mu kibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu Dr Andrew Bakainaga agamba nti okugezesa kuno kwetabiddwaamu bannayuganda 42 n’abantu abalala 20 abavudde mu mawanga ga Kenya, Tanzania ne America

Bakainaga agamba nti nga buli kimu kitambudde bulungi , omuwendo gw’abantua bafuna mukenenya gwkaukendeera