Ebyobulamu

Eddagala eritta obulumi tewali

Ali Mivule

June 3rd, 2014

No comments

patient in pain

Ebbula ly’eddagala eritta obulumi eri abantu abalina endwadde ezitawona litandise okweralikiriza abasawo

Kigambibwa okuba nti abantu obukadde 18 beebafiira mu bulumi obw’ekitalo buli mwaka olw’okubulawo eddagala erikkakkanya ku bulumi.

Mu ggwanga lya Ethiopia wokka, abalwadde ba kokoolo kigambibwa okuba nti batuuka n’okwesuula mu motoka nga bakooye obulumi.

Ab’ekibiina ekibubabuda abalina endwadde ezitawona mu nsi yonna ekya The Worldwide Palliative Care Alliance bagamba nti obuzibu businga kuva ku gavumenti ezitali zimu obutafaayo kufunira balwadde bayi ddagala liweweeza bulumi nga Morphine

Abasawo bangi tebagaba ddagala lya Kika kino nga bagamba nti ebiri giguba era ekiseera kituuka omuntu obulumi nebumusukkako