Ebyobulamu
Eddagala eritta obuwuka lijja lifa
Ensi eyolekedde obuzibu bw’okwesanga nti kumpi eddagala ly’ebiwuka lyonna lyandikoma okukola ku bantu
Katikkiro wa Bungereza david Cameron agamba nti eddagala lya antibiotics oba ery’ebiwuka lingi terikola ku bantu abamu naddala ssinga balikozesa okumala ebbanga.
Ono agamba nti bbo nga Bungereza kati batandise okwetegereza eddagala lino okuzuula lwaki kino bwekiri
Ekibinja ky’abakugu kimaze okuyimbulwa okwetunuula mu nsonga eno kubanga yeeralikiriza
Ekibinja kino era kigenda kukola omulimu gw’okuyiiya eddagala eppya eriweebwa ab’ebifuba, abalina ebiwuka n’endwadde endagala ezeetaga amakerenda agatta obuwuka