Ebyobulamu
Eddagala kya kokoolo likyabuze
Ebbula ly’eddagala ku ddwaliro lya kokoolo e Mulago likyagenda mu maaso n’okuluma
Tuzzeemu kugenda ku ddwaliro lino ng’abalwadde bangi bakonkomalidde wabweeru w’eddwaliro nga basobeddwa
Akulira eddwaliro lino Dr Jackson Oryem agamba nti abajja babagamba kugenda wabweru gyebaba bajja eddagala kyokka ng’abamu tebalina ssente kubanga lyabuseere.
Dr Oryemu agambye nti obulwadde bwa kokoolo buzibu nnyo ng’eddagala lyaabwo zzibu ate nga lyabbeeyi ate limiribwa wamu.
Oryemu agambye nti ababagabira eddagala eba National medical stores bakyalina obuzibu mu kubafunira eddagala era ng’ekizibu kino kirabika kikyaliwo