Ebyobulamu
Eddagala lya Kkolera lizuuliddwa
Waliwo eddagala erizuuliddwa mu ggwanga lya Bangladesh nga ligema obulwadde bwa kkolera ate nga teriseerebwa nnyo
Eddagaala lino balikuba mu kamwa.
Likozeseddwa ku bantu emitwalo 26 era nga kyeyolese nti abantu abafuna kkolera n’ebitundu 37 ku kikumi.
Abakugu baanirizza ebizuuliddwa nga bagamba nti eddagala lino lijja kuyamba nnyo mu mawanga g’abaavu
Okusinziira ku kibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna, abantu abali wakati w’obukadde 3 n’obutaano beebafuna kkolera buli mwaka nga ku bano emitwalo 12 bafa.