Ebyobulamu
Eddagala ly’ekiwalaata liriino
Bannasayansi bazudde eddagala eriyinza okuyamba abantu nebatamanyuuka nviiri kufuna kiwalaata
Eddagala eryogerwaako lyelibadde likozesebwa ku bantu abalina amagumba agatayunga bulungi
Eddagala lino erimanyiddwa nga ruxolitinib liyamba omuntu okumera enviiri
Abakoze okunonyereza kuno beeba Columbia University Medical Center.
Ekiwalaata nno yadde abamu bakiyita kabonero ka bugagga naye bulwadde bwneyini.
Mu ggwanga lya Bungereza, ku buli bantu olukumi b’osanga babiri babeera n’ekiwalaata
Bannasayansi bagambanti ekiwalaata kiva ku biwuka obulya obusimu obukola ku muntu okumera enviiri n’ekivaamu kiwalaata
Kuno kwekunonyereza okusoose okubaako newekutuuka ku kiwaalata nga kwonna okwe mabega kubadde tekuvaamu bibala ku bantu yadde kuba kukoze ku mmese