Ebyobulamu
Eddwaliro lirongooseddwa
Kyadaaki eddwaliro lye Magola health centre III in mu disitulikiti ye Tororo liddabiriziddwa
Ng’ayogerera ku mikolo gy’okuggulawo eddwaliro lino, minisita akola ku by’obujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi alabudde abasawo ku kusika mu bantu ensimbi okubakolako
Opendi agambye nti eno y’ensong esinga okugoba abantu mu malwaliro nebaddukira ku basawo b’ekinnansi.
Asabye abakulembeze mu kitundu okukunga abantu bagende bafune obujjanabi okusobola okukendeeza ku muwendo gw’abafa endwadde ezisobola okwewalibwa
Eddwaliro lino lirongoseddwa ab’ekibiina ekirwanyisa omusujja gw’ensiri ku bukadde 700