Ebyobulamu

Abatuuze e Jinja balajana lwa ddwaliro erivaamu ekivundu

Abatuuze e Jinja balajana lwa ddwaliro erivaamu ekivundu

Ivan Ssenabulya

December 4th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Abatuuze mu Town Council ye Buwenge mu district ye Jinja batabukidde abakulembeze baabwe, olwekivundu kyemirambo kyebagamba nti kifubutuka mu ddwaliro lya Buwenge Health 4.

Abatuuze eno balumiriza nti mu ddwaliro mulimu emirambo 6, ejivunda nga gyejivaamu ekivundu.

Akulira eddwaliro lino Dr Steven Baligeya agambye nti kino kivudde ku bbaati lye ddwaliro, eririmu ekituli, nga mwemufulumira ekivundu.

Wabula agamba tekirna bulabe bwonna eri obulamu bwabatuuze abetoloddewo.