Ebyobulamu
Eddwaliro lya Buganda
Obwakabaka bwa Buganda butandisewo eddwaliro e Bwaise
Abavubuka abayisiraamu okuva mu Buganda nga bali wamu ne gavumenti y’eggwanga lya Brunei beebakulembeddemu omulimu guno oguwemmense akawumbi kamu mu obukadde 200
Eddwaliro lino lisangibwa mu zone ya Bwaise 1 mu division ye Kawempe
Eddwaliro lino erimanyiddwa nga Bulwadda ligenda kujjanjaba endwadde ezitali zimu omuli amannyo, endwadde z’abakyala, okubazaalisa era nga lijja kuba likola ne sikaani.
Eddwaliro lino lirimu ba naasi 10, ba doctor 15 era nga lijja kukebera nga n’omusaayi
Liguddwaawo omulangira jjunju Kiweewa eyebazizza obwakabaka olw’okusembereza abantu eby’obujjanjabi