Ebyobulamu
Eddwaliro lya kokoolo lyakwetongola
Olukiiko lwa baminista lusemberedde okuyisaamu ekiteeso ekinasobozesa eddwaliro lya kokoolo okwetongola
Eddwaliro lino eryatondebwaamu mu mwaka gwa 1967 bulijjo litambulira wansi w’eddwaliro ekkulu erye Mulago
Omwogezi wa gavumenti Rose namayanja agamba nti kino kijja kuyamba eddwaliro lino okufuna ensimbi eziwerako okuyambako
Namayanja era nga omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa kokoolo gweyongedde kale nga y’ensonga lwaki eddwaliro lino lyetaagamu amaanyi