Ebyobulamu

Eddwaliro lyafuuka wofiisi

Ali Mivule

December 9th, 2014

No comments

EDDWALIRO KIYUUNI.

Agava e Mbale geeg’eddwaliro lye Bumasikye okubeera nga kati lyafuulibwa kitebe kya gombolola

Eddwaliro lino lirina okukola ku bantua basoba mu 13,000 kyokka nga kati bano basindikibwa mu malwaliro amalala kubanga tewakyaali ddwaliro.

Eddwaliro lino lyaali lyazimbibwa mu mwaka gwa 2009 era nga libadde likola ku balwadde okuva olwo.

SSentebe we gombolola ye Bumasikye Jack Nanghosha agambye nti  eddwaliro lino lyaali terifuna balwadde bali awo ate nga teririna na bukulembeze butuufu.

Wabula ono ebigambo bye biwakanyiziddwa abantu  ababadde mu lukiiko lwa balaza nga balumiriza nti bagobwa buli lwebagenda mu ddwaliro nga kati zafuuka ofiisi za ssentebe