Ebyobulamu
Eddwaliro lye Lubaga lyetaaga byuma
Eddwaliro lye Lubaga litandise kawefube w’okutereeza eddwaliro omujjanjabibwa abaana abakazaalibwa
Kawefube ono agenda okutongozebwa ku lw’omukaaga luno agendereddwaamu kulaba nti eddwaliro lino lissibwaamu ebyuuma eby’omulembe
Omwogezi w’eddwaliro lino Anne Nganda agamba nti basobodde okufuna ensimbi ezizimba leeba, sweeta bbiri , n’awatuukira abakyala n’eddwaliro ly’abaana nga kati beetaga byuma bya baana
Okusinziira ku KCCA, eddwaliro lye Lubaga kikola ku bantua emitwalo 13 nga buli mwaka lizaaza abakyala 6000
Akulira eddwaliro lino Dr Peter Kibuuka, agamba nti bagaala babeera n’ebyuuma eby’omulembe okutereereza ddala ebyobulamu