Ebyobulamu
Eddwaliro lye Masaka lifunye sikaani
Kyaddaaki eddwaliro lye Masaka lifunye sikaano oluvayuma lw’emyaka ena nga teririna kyuuma kino
Akulira eddwaliro lino Ereazer Mugisha y’ayanjulidde bannamawulire amawulire gano
Mugisha agambye nti ekyuma kino baakiguze obukadde 122 okuva e Budaaki nebakola ne ku kikadde ku bukadde 55
Ono agambye nti ebyuuma bino byatandise dda okukola era nga biriko n’abasawo abakugu
Omu ku basawo abakugu mu ddwaliro lino David Kasadha agambye ebyuuma bino buwereero bwenyini kubanga babadde bafuna nga abalwadde naye nga tebasobola kubakolako