Ebyobulamu
Eddwaliro lye mulago lyagaala byuma ebikuza abaana
Eddwaliro lye Mulago lyetaaga ebyuuma ebikuza abaana okukola ku muwendo gw’abaana abeeyongedde abazaalibwa nga tebannaba kwetuuka
Okusinziira ku baddukanya eddwaliro balina ebyuuma bino 24 naye ng’ebikola biri 13 byokka
Omusawo omukugu mu nsonga z’abaana Dr Jamiru Mugalu agamba nti oluusi batuuka n’okubeera n’abaana 135 ku byuuma ebitono byebalina nabo nebasoberwa
Dr.Mugalu agamba nti kino kubawaliriza okussa abaana babiri mukyuuma kimu oba n’abamu okubamuwwumuza mu ntebe ate nga ssibwekirina okuba