Ebyobulamu

Eddwaliro lye Mulago ly’akugulwawo mu myezi 5

Eddwaliro lye Mulago ly’akugulwawo mu myezi 5

Ivan Ssenabulya

April 3rd, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Eddwaliro lye Mulago lyakutandika okukola mu bbanga lya myezi 5, okuva kati ssinga gavumenti enaaba ebawadde obuwumbi 36 zebetaaga.

Mu mwaka gwa 2014 Mulago omukadde lweyantika okudabirizibwa okulifuula eddwaliro eryuomulembe era erigenda okukola ku birwadde ebikambwe byokka.

Mulago omukadde yeyekka abadde adabirizibwa.

Bwabadde ayogera ne banamwulirwe oluvanyuma lwokulambula kwebabaddeko ku ddwaliro lino, okulaba emirmu bwejitambula Dr Baterana Byarugaba agambye nti emirmu gitambudde 91%.

Ebimu ku bikyabanjibwa ssente kuliko amadinisa, amataala gomu sweeta, nebralala ebikozesebwa abasawo.

Wabula eddwaliro agambye nti lyetaaga obuwmbi 76 okuddukanya emirmu egya buli lunnaku, bwerinaaba liguddewo.