Ebyobulamu

Eddwaliro tekuli kasolya

Ali Mivule

November 28th, 2013

No comments

beds

Embuyaga ekedde okukunta etikudde akasolya k’eddwaliro lya lya Health Centre iv nereka akasenge omuli abakyala b’embuto abasoba mu 40 nga bali mu kyangaala.

Eddwaliro erikoseddwa lisangibwa Ntoroko mu bugwanjuba bw’eggwanga.

 Abakyala bano beegamye ku mbalaza nga ab’ekitongole ky’omusalaba omumyuufu okuva e Bundibugyo bayitiddwa dda okutaasa abakyala bano.

Ekibinja kyatandise dda okuzimba weema abakyala bano basulemu.

 Abakulembeze ba District wowulirira bino nga bali mu lukiiko okuteesa ku kiki ekyokukolera abantu bano.