Ebyobulamu
Edwaliro ely’e Masaka teririna CT scan.
Bya Moses Muwulya.
E Masaka obujanjabi bwongedde okukaluba ,nga kino kidiridde obutaba na kyuma ekya CT scan ekyeyambisibwa nokukeberaabafunye obuvune ku mitwe.
Okusinzira ku adukanya edwaliro lino Edward Kabuye, kuno okusomozebwa kwamanyi eri edwaliro erifuna ennyo abalwade abasimatuse obubenje.
Yye omulwanirizi we dembe ly’abalwade mu kitundu kino Swaib Makumbu agamba nti kino kitadde abalwade bangi mu matiga,nadala abo abatosobola okugenda Kampala oba e mbarara.