Ebyobulamu
Eggwanika ssi lyakutereera
Embeera ku ggwanika e mulago yakusigala nga mbi okutuusa nga KCCA amaze okuddabiriza eggwanika lyaayo.
Aba KCCA bagamba nti eggwanika lyaabwe lyakuggwa okuddabirizibwa mu mwezi gw’okusatu omwaka ogujja.
Akulira eddwaliro lye Mulago, Dr Baterena Byarugaba agamba nti mu kadde kano tebalina kyakukolera mbeera eno.
Dr Byarugaba agamba nti eggwanika lino lyazimbibwa emyaka 51 emabega era nga telisobola kubeera nga litwaala emirambo gyonna egya kampala n’egyabalwadde abafiira mu ddwaliro lyaabwe.
Eggwanika lino lyalagibwa gyebuvuddeko nga buli kimu nagalaale.
Ebintu bingi byafa dda ate ebilala bitalavvu kyokka nga ggwo omujjuzo muyitirivu.