Ebyobulamu
Ekikulekule mu Buyindi
Abasawo bakola kyonna ekisoboka okutaasa omwana eyazaaliddwa me feesi bbiri mu ggwanga lya Buyindi
Omwana ono yazaalibwa nga 22 omwezi guno era ng’embeera gy’alimu ssi ya bulijjo
Omwana w’ekika kino tatera kuzaalibwa nga mu buli baana emitwalo 10 omu y’azaalibwa era nga mu nsi yonna, abaana b’ekika kino 36 beebakazaalibwa kyokka nga teri yali alamye
Omwana ono alina emimwa ebiri, enyindo bbiri n’amaaso ana kyokka ng’omubiri gwe wansi tewali njawulo na mwana wa bulijjo