Ebyobulamu
Ekirwadde kya Cholera kizzemu
Ekirwadde kya Cholera kizzemu okubalukawo mu disitulikiti ye Sironko nga tewanayita namyezi 2 nga kyekiggye kigoye abeeno.
Kati abantu 3 bebakaweebwa ebitanda mu malwaliro agenjawulo.
Ku ntandikwa y’omwaka guno cholera yazingako ebitundu bye Mbale ne Sironko nga era yatta abantu 10 n’abalala nebaweebwa ebitanda.
Omubaka wa pulezidenti e Sironko Moses Wamoto Kigayi agamba abalwadde bonna bava Budadiri nga babaddusizza mu ddwaliro oluvanyuma lw’okufuna obubonero bwa Cholera.