Ebyobulamu
Ekirwade ky’entumbi kitabukidde abatuuze be Buvuma.
Bya sadat Mbogo.
Abatuuze mu bizinga by’e Buvuma beeraliikirivu bya nsusso olw’eddagala ly’ekirwadde ky’entumbi okubula mu bitundu bino kati ebbanga lya myezi ebiri .
Bano bawanjagidde government n’ebitongole eby’obwannakyewa okubadduukirira ng’ekizimba tekinnasamba ddagala.
Omubaka wa president e Buvuma, Lillian Nakaweesi asuubizza nga bwali mukukwatagana nebekikwatako okulaba nga abantu bafuna eddagala ly’entumbi.
Wabula ono alabudde abatuuze okukomyanga okweyambiranga mu nnyanja n’okunaabiramu kyayogeddeko nga ekikolwa ekyobulabe enyo ekisinze okuleetera ekirwadde kino okusaasaana amangu.