Ebyobulamu
Ekyenkya kikulu nnyo
Abantu bangi berekereza okulya ekyenkya nga bakekkereza ate abalala naddala abakyala mbu bagaala kusala weyiti ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri
Naye obadde okimanyi nti obutalya kyankya kya bulabe nnyo eri obulamu.
Kati ate bbo abagaala okusala weyiti bamala biseera kubanga ate kino kibongera kugejja.
Dr Charles Kakooza okuva mu ddwaliro e Mulago agamba nti kirungi omuntu n’anywa ku chai, ekibala n’eyenvu.